Romans 9

Okulonda kwa Katonda

1 aNjogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange nga gunkakasa mu Mwoyo Mutukuvu, 2nga ndimunakuwavu nnyo era nga nnumwa mu mutima. 3 bNnali njagala nze mwene nkolimirwe Katonda era njawukanyizibwe ku Kristo olwa baganda bange, bwe tuli ab’omu mubiri, 4 cbe Bayisirayiri, abantu ba Katonda abalonde. Katonda yabalaga ekitiibwa kye, n’akola nabo endagaano, n’abawa n’amateeka ge. Yeekaalu yagibawa, n’abawa n’ebyasuubizibwa. 5 dBalina bajjajjaabwe abamanyiddwa, Kristo be yasibukamu mu mubiri. Nsaba Katonda afuga byonna atenderezebwenga emirembe gyonna, Amiina.

6 eNaye si kuba nti Katonda yalemwa okutuukiriza kye yasuubiza. Si bonna ab’omu Isirayiri nti bantu ba Katonda ddala. 7 fAte so si nti ly’ezzadde lya Ibulayimu bonna balyoke babeere abaana, naye ekisuubizo kyali ku Isaaka bwe kyagambibwa nti, “Mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza.” 8 gKino kitegeeza nti abaana ab’omubiri si be baana ba Katonda, wabula abo ab’okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde lya Ibulayimu. 9 hKubanga ekigambo ky’okusuubiza kye kino nti, “Mu kiseera nga kino Saala alizaala omwana owoobulenzi.”

10 iAte si ekyo kyokka, naye ne Isaaka jjajjaffe yalina Lebbeeka eyali olubuto. 11 jNaye ng’abalongo tebannazaalibwa, era nga tebannabaako kye bakola kyonna ekirungi oba ekibi, okusiima kwa Katonda nga bwe kuli, 12 ksi lwa bikolwa wabula ku bw’oyo eyabayita, kyategeezebwa Lebbeeka nti, “Omukulu y’aliba omuweereza w’omuto.” 13 lEra nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yakobo namwagala, naye Esawu namukyawa.”

14 mKale tunaagamba ki? Ddala ddala Katonda talina bwenkanya? Kikafuuwe. 15 nAgamba Musa nti,

“Ndisaasira oyo gwe ndisaasira,
era ndikwatirwa ekisa oyo gwe ndikwatirwa ekisa.”
16 oNoolwekyo tekiva ku ebyo omuntu by’ayagala newaakubadde by’akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda. 17 pEbyawandiikibwa kyebyava byogera ku Falaawo nti, “Kyennava nkuyimusa, ndyoke njolese amaanyi gange mu ggwe, erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi zonna.” 18 qNoolwekyo Katonda asaasira oyo gw’ayagala okusaasira, ate n’akakanyaza omutima gw’oyo gw’ayagala okukakanyaza.

19 rOmu akyayinza okumbuuza nti, Lwaki Katonda atunenya, obanga y’atuleetera okukola nga bw’asiima? 20 sNaye ggwe omuntu obuntu, ggwe ani addamu ng’owakanya Katonda? Ekibumbe kiyinza okubuuza eyakibumba nti, “Lwaki wammumba bw’oti?” 21 tOba omubumbi talina buyinza ku bbumba, okubumbamu ekibya eky’omugaso, oba okubumbamu ekitali kya mugaso?

22 uKatonda yayagala okulaga obusungu bwe, n’amaanyi ge eri abo bonna abaali basaanira okuzikirizibwa, kyokka n’abalaga obugumiikiriza. 23 vEkyo yakikola alyoke amanyise obugagga bw’ekitiibwa kye, eri abo bonna be yeerondera okugabanira awamu ekitiibwa kye. 24 wNaffe yatuyita, si Bayudaaya bokka naye n’Abaamawanga. 25 xNe mu Koseya agamba nti,

“Abataali bantu bange ndibayita abantu bange,
Ne gwe nnali ssaagala, ndimwagala.”
26 yMu kifo omwo mwe baayitirwa nti,

“Temuli bantu bange,
mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.”
27 zIsaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja,
ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.
28 aaKubanga Mukama alisalawo
era alituukiriza mangu ekyo kye yagamba okukola ku nsi.”
29 abEra nga Isaaya bwe yayogera edda nti,

“Singa Mukama ow’Eggye
teyatulekerawo zzadde,
twandifuuse nga Sodomu,
era twandifaananye nga Ggomola.”

Obutakkiriza bw’Abayudaaya

30 acKale tunaagamba ki? Tugambe nti Abaamawanga abataagobereranga butuukirivu, baafuna obutuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza, 31 adnaye Isirayiri mu kugobereranga amateeka ag’obutuukirivu, teyafuna butuukirivu obwo? 32 aeLwaki? Ekyo baalema okukituukako kubanga tebaagoberera butuukirivu mu kukkiriza wabula mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako, 33 afnga bwe kyawandiikibwa nti,

“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako
Ejjinja eryesittalwako ye Kristo.

n’olwazi olulibasuula.
Oyo amukkiriza taliswazibwa.”
Copyright information for LugEEEE